Induced Abortion and Postabortion Care Among Adolescents in Uganda—Luganda

Reproductive rights are under attack. Will you help us fight back with facts?

This fact sheet is also available in English

 

OKUGYAMU EMBUTO OKUKIRIZIBWA N’ENDABIRIRA EWEEBWA ABAVUBUKA ABAGGYEEMU EMBUTO MU UGANDA

  • Amateeka ga Uganda gakkiriza okujjamu olubuto singa kiba kitaasa obulamu bw’omukyala. Mu ngeri y’emu galambika okujjamu olubuto singa wabeerewo embeera etajjakusobozesa mwana ali munda kukula bulungi, oba singa omukyala aba y’akwatibwa oba yaganzibwa ow’oluganda lwe n’afuna olubuto, oba singa omukyala aba alina akawuka ka mukenenya.
  • Wabula abakyala abandyagadde okujjamu embuto n’abasawo abalina okubayamba bazibuwalirwa okumanya ddi eteeka lwelibakiriza okujjamu olubuto kubanga ssi ddambulukufu bulungi era abakwasisa amateeka  buli omu alitaputa bubwe. Nolwensonga eyo abasawo beewala okujjamu embuto olwokutya omukono gw’amateeka okubakwata.1
  • Mu nsi yonna amateeka amakakali [ogafaananako aga Uganda] tegasobodde kukugira kujamu mbuto wabula galeetera abajjamu embuto [Abakyala n’abasawo] okutya okusibwa, okusosolebwa ekiviiramu abakyala okukukuta, n’okujjamu embuto mu ngeri enkyamu ezireeta obulabe ku bulamu bwabwe.
  • Mu Uganda mu mwaka gwa 2013 abakyala bawereera ddala 93,000 abaweebwa ebitanda mu malwaliro olw’okujjamu embuto mu ngeri enkyamu era ezireeta obulabe ku bulamu bwabwe era ebitundu kkumi ku kikimi ebya ba maama abafa biva kukujamu mbuto mungeri ekyaamu.

Ebikwata ku kujjamu embuto mu Bavubuka

  • Mu mwaka 2013 mu Uganda abavubuka wakati w’emyaka 15–19 abajjamu embuto bawerera ddala 57,000.
  • Wadde nga abavubuka bakola ebitundu 25 ku kikumi ku muwendo gw’abo abawezezza emyaka egizaala, ku mbuto ezajibwamu baalinako ebitundu 18 ku kikumi.
  • Okunoonyereza kulaze nti ku mbuto zonna ezajjibwamu abakyala abali mu myaka egizaala mu gwanga lyonna abavubuka abali mu myaka egiri wakati wa 15–19 baalinako ebintundu bitono ddal Ku bakazi 1,000 abawala abajjamu embuto baali 28 bokkabwogeraageranya 39 ku 1,000 mu bakazi abali wakati w’emyaka 15–49. Mu bakyalaebeegatta mu nsonga zomukwano kyazuulibwa nti abavubuka beebasinga okujjamu embuto nga baali 76 ku 56 buli bakazi 1,000.
  • Mu mwaka gwa 2013 embuto ezajjibwamu, zaali obutundu 15 ku buli kikumi mu bakyalaab’emyaka egyayogedwako waggulu. Ebbula ly’okumanya ebikwata ku kujjamu embuto wamu n’obuweereza obukwata kunkola z’entegeka y’ezadde z’ezimu ku nsonga ezireetera abavubuka abali mu myaka egizaala okujjamu embuto era emizizikogy’egimu era gibateeka mu kabenje k’okokufuna embuto z’ebateetegekedde.

OKUJJAMU EMBUTO N’ENZIJANJABA YABAGYEMU EMBUTO MU BAVUBUKA

  • Mu mwaka 2013 abavubuka abeeyunira obujjanjabi oluvannyuma lw’ojjamu embuto, omuli okujjanjabwa oluvannyuma lw’okufuna ebizibu ebyekuusa ku kuvaamu embuto mungeri enkyamu, oba embuto okuvaamu zokka, embeera ezo zaali nnyingi nnyo okusinga ku ndabirira y’abantu abamaze okuvaamu embuto, nga basussizza emyaka 20, embuto ezo nga zisussizza mu myezi esatu egisooka, okulwawo okulaga obwetaavu bw’okulabirirwa oluvannyuma lw’okuvaamu embuto, oba okufuna obulumi obususse.
  • Abavubuka abaanoonya obujjanjabioluvannyuma lw’okujjamu embutobaali bangiokusinga abakazi abakulu abaanoonya obujanjabi oluvannyuma lw’okujjamu embutonga si bafumbo (81% bw’ogeraageranya ne 46%) nga baasomako okutuuka mu siniya (43% bw’ogeraageranya ne 31%)
  • Abakazi abafumbo n’abatali bafumbo; nga mw’otwalidde n’abavubuka abawala abatali bafumbo, abaanoonya obujjanjabi oluvannyuma lw’okujjamu embuto baali bangi okusinga abakyala abafumbo, abaafuna obuzibu obunene obuva mu kujjamu embuto.

ENTEGEKA Y’EZADDE N’OBWETAAVU BYAYO

  • Okusinziira ku biwandiiko ebyafulumizibwa mu mwaka 2016, obwetaavu bw’entegeka y’ezadde bwali waggulu mu bawala abavubuka abatannaba kufumbirwa (45%) okusinga mu bavubukaabawala abafumbo (30%).
  • Mu mwaka 2013 ebitundu ataano ku kikumi eby’embuto mu bawala wakati w’emyaka 15–19 zaali tebazeetegekedde ate nga kwezo ebintu kuminabitaano ku kikumi zagibwamu.

AMAGEZI GE TUWA

  • Ebiwandiiko biraga nti mu bakazi abanoonya obujjanjabi oluvannyuma lw’okujjamu embuto, omuli abatali bafumbo, nga mw’otwalidde n’abavubuka baba mu katyabaga k’okufuna obuzibuobuva mu kujjamu embuto mu ngeri enkyamu. Enkola ennuŋŋamu era ey’omuzinzi ekwata ku by’entondwa (Sexual Reproductive Health Rights) yeetaagibwa nnyo okusobozesa okwaŋŋanga obwetaavu ku by’entodwa eri abawala abatali bafumbo era abatuuse mu biseera by’okwegatta mu mukwano,
  • Okufuna entegekay’ezzadde n’okufuna okubangulibwa ku by’entodwa ebituukira kumyaka ej’enjawulo (Sexuality Education), kijakuyamba abavubuka okwetangira okufuna embuto ze bateeyagalidde.

 

BINO WE BISIMBUDDWA

Bwe kiba tekiragiddwa mu ngeri eyawukana ku eno, byonna ebiri mu kiwandiiko kino bisangibwa mu mu Sully EA et al., Estimating abortion incidence among adolescents and differences in post abortion care by age: a cross-sectional study of post abortion care patients in Uganda, Contraception, 2018 (Kijja).

EKYESIGAMIRO

1. Center for Health, Human Rights and Development (CEHURD) and Center for Reproductive Rights, Facing Uganda’s Law on Abortion: Experiences from Women & Service Providers, Kampala, Uganda: CEHURD, 2016.

OKWEBAZA

    Okunoonyereza okuli ku lupapula luno kwakolebwa n’obuyambi okuva mu Swedish International Development Cooperation Agency ne the Dutch Ministry of Foreign Affairs ne UK Aid okuva mu UK. Gavumenti. Ebyazuulwa mu kunoonyereza n’okuwumbawumba mu kunoonyereza kuno tekitegeeza nti ye ndowooza n’enkola y’abavujjirizi.